OBULWADDE obuluma omuyimbi Sarah Short, bweraliikirizza abawagizi be. Ono amaze akabanga ng’okutambula lutalo oluvannyuma lw’okufuna okulumizibwa mu magulu g’agamba nti galudde nga gamuluma nga w’atereeramu.
Agamba nti ku mulundi guno, gaamukubye wansi era takyasobola kutambula.
Yategeezaako Eddy Kenzo akulira Federation y’abayimbi n’atwalibwa mu ddwaaliro ajjanjabwe kyokka bbiiru n’ebasukkako kwe kumuzza awaka.
Ayongerako nti eddagala ly’afuna kati likkakkanya ku bulumi kyokka nga baamugamba bw’aba waakuwonera ddala, alina eddagala eddala ly’alina okufuna wabula lya bbeeyi ng’asaba abazirakisa okumudduukirira afune ssente z’eddagala atereere.