Omwana alumirizza omukuza okwezza nnyabwe

Omwana alumirizza omukuza okwezza nnyabwe nga kitaabwe afudde n’abaliisa akakanja n’atuuka n’okumusibya mu kkomera e Luzira nga amusibyeko ogw’obutemu ne mu kooti yamusabira omulamuzi amuwanike ku kalabba.

Aba Famire nga bali mu lukiiko
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision

Omwana alumirizza omukuza okwezza nnyabwe nga kitaabwe afudde n’abaliisa akakanja n’atuuka n’okumusibya mu kkomera e Luzira nga amusibyeko ogw’obutemu ne mu kooti yamusabira omulamuzi amuwanike ku kalabba.

          Omukuza agambye nti ab’ekika baamuwa amagezi yezze nnamwandu kubanga yali akyalimu emmunye era yamuzaalamu abaana abalala bana.

          John Aluma atuuse okukulukusa amaziga nga annyonyola engeri kitaawe omuto James Lubo era omukuza gy’ababonyabonezza okuva  kitaabwe John Bila lweyafa mu 2005.

          Olumu yabalumba n’akwata mukamwana n’amukuba n’amwambulamu akawale k’omunda.

          Bano batuuze ku kyalo Butakoola mu ggombolola y’e Kayunga mu disitulikiti y’e Kayunga.

Aba Famire nga bali mu lukiiko

Aba Famire nga bali mu lukiiko

          Aluma agambye nti talina kuwannanya omukuza ono era nga kitaawe yeyatematema mukazi we n’omwana gweyajja naye mu bufumbo ku ssekukkulu ya 2019 kyokka n’akiteeka ku Aluma olw’okuba yali ayagala bamusibe afire mu kkomera olw’empala z’ekibanja.

          Aluma yannyonyodde nti entabwe y’obutakkanya ne kitaawe Lubo yava ku bintu kitaabwe byeyaleka kubanga ono bweyezza nnamwandu n’amuzaalamu yatandika okutunda ebintu byonna eby’omugenzi era abaana Aluma bweyakuvubuka n’awasa yatandika okubanja omukuza ebibanja era guno gwafuuka omusango.

          Aluma agamba nti olukiiko lw’ekika lwatuulane abakulu ne balagira Lubo okuwa abaana ekibanja kyeyatunda n’amuwamu ekikye era yakimuwa mu butagaane nga bw’amwewerera nti bw’atalimutta alimussaako essango afiire mu kkomera.

          Aluma annyonyodde nti kitaawe yamulondoola ne mu kooti n’amukomerera nga bweyatta omukazi n’omwana era n’asaba omulamuzi amukomerere ku kalabba.

          Aluma agamba nti oluvama lw'emyaka ena e Luzira, omulamuzi David Matovu owa kooti enkulu e Mukono oluvanyuma lw’okuwuliriza obujulizi yejjereza Aluma emisango gy’obutemu wabula yagenda okutuuka nga mu maka nga kitaawe yafumuulawo dda omukazi n’abaana enyumba n’agyeddiza.

          Wabula Lubo agamba nti teyatta mukamwana n’omuzzukulu nga mutabani we bw’amulumirira era ono yasoose kutegeeza nga bw’ali Munnamagye eyawummulira ku ddaala lya Lieutenant wabula nti teyafunayo nnamba.

          Aluma yagenze ewa Collins Kafeero ow’amaka n’eddembe ly’obuntu eyagenze ku kyalo okwongera okwetereza ensonga era gye byaggweredde nga Lubo akwatiddwa ku misango gy’okudobonkanya ebintu bya Bamulekwa n’emirala.

          Kafeero oluvanyuma lw’okulaba endagaano Lubo n’abekika gye baawa Aluma okumukakasa ku kibanja ekimukwasiddwa yalagidde Aluma abeere mu kibanja kye.