Abaamenye amayumba babakubye amasasi

POLIISI ekubye amasasi mu kibinja ky’abavubuka abaapangisiddwa okuva e Kawempe okugenda e Bulenga okumenya amayumba g’abantu mu matumbibudde.

Abamu ku bavubuka abaakwatiddwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIISI ekubye amasasi mu kibinja ky’abavubuka abaapangisiddwa okuva e Kawempe okugenda e Bulenga okumenya amayumba g’abantu mu matumbibudde.
Amasasi gano gaanyoose ku ssaawa 9:00 ogw’ekiro nga gaakutte abavubuka babiri omu eyategeerekeseeko erya Kasirye n’afiirawo omulala Regan Kabuye 19, omutuuze w’e Kikaaya Bulenga, n’agendera ku bisago ng’ono mu kiseera kino apooceza mu ddwaaliro e Mulago.
Abalala bana, abatuuze nga bayambibwako poliisi baabatayizza ne babakwata oluvannyuma lw’okukoona amayumba ga bannaabwe ne bagaleka ku ttaka. Bano kuliko; David Ssekyanzi (19), ow’e Jinja Kalooli mu Kawempe, Isa Lala (30), Ashiraf Kasozi (20) ne Yosam Arinaitwe (20), ab’e Kawempe Kuttaano.
Ssentebe w’ekyalo Moses Katumba, yategeezezza nti ettaka erikaayanirwa lyali lya mutaka w’Ekika ky’Enkima, Peter Banda Kamulegeya kyokka oluvannyuma yaliguza John Katuramu ng’ono naye yaliguza Rogers Ddungu kyokka n’afuna obutakkaanya n’abatuuze olw’okwagala okubazibira oluzzi ekyamuwaliriza okuva ku kyalo n’alirekera Nooh Kalyesubula amanyiddwa nga ‘Al Qaidah’ wabula kigambibwa oluvannyuma lyaguzibwa omusuubuzi w’ettaka ayaliguza be baakoonedde amayumba.
Katumba yagambye nti wiiki bbiri eziyise, waabaddewo abantu ab’enjawulo abapima ettaka lino kigambibwa nti bandiba nga be bali emabega w’ekibinja ekyakoonye amayumba g’abatuuze.
Florence Nalukenge, omu ku be baakoonedde ennyumba alumiriza abavubuka bano okumubbako essimu ze ne ssente enkalu. Ronnie Byakatonda, Olivia Nambassa ne Yusuf Ssebote nabo baabakoonedde amayumba ng’awamu ennyumba 6 ze zaakakooneddwa.
Ekikwekweto ky’okukwata bano kyabaddemu amagye ne poliisi abaabadde mu kulawuna g’okukuba amasasi, ekyaddiridde okuyimiriza abavubuka abaabadde ku boda boda ne bagaana. Baabasuuzizza takisi UBD 093C mwe baabadde, Mark II UAR 230F egambibwa okuba ey’omugagga eyabawadde omulimu ne piki piki UMA 328B.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yakakasizza obulumbaganyi buno n’agamba nti bagguddewo fayiro SD REF02/03/07/2025.