ABAKULEMBEZE ba takisi balaze nti ebibinja by’ababbi abanyaga abasaabaze ne batwaliramu n’emmotoka zaabwe ekibondo kiri Nansana gyebasimbuka ne asaasaanira ebitundu bya Kampala eby’enjawulo.
Balaalise nti batandise omuyiggo gw’okubalinnya akagere era abamu ku babakulira babamanyi bulungi.
Atwala ebyokwerinda mu kibiina ekigatta aba ttakisi mu ggwanga ekya UTOF, Mustafa Muwanga yategeezezza nti okunoonyereza we baakoze, batuula ku masitoowa abalala ku kibulooka.
Ku Lwokusatu, ssentebe wa UTOF, Rashid Ssekindi yatuuzizza olukiiko lwa baddereeva ba ttakisi e Katooke n’alabula nti ababbi mu ttakisi bateekwa okukwatibwa ate
baddereeva abapangisa ababbi mmotoka bagenda kugobwa mu mulimu gwabwe.
Bagguddewo ofiisi e Katooke gyeyaweeredde baddereeva biragiro nti bo bennyini baddereeva abatuufu basooke banyweze byokwerinda nga bakozesa ofiisi eyo okwongera okuzuula ababba mmotoka n’abasaabaze.
Yalagidde nti batereeze ekifaananyi kyabwe mu basaabaze. Bambale kaadi ezibalaga omulimu gwebakola, ssaako emijoozi egiriko nnamba n’ekigambo UTOF okweyawula
ku babbi n’emmotoka baziteekeko sitiika eziraga nti ntuufu. Yasiimye abakulembeze ba addereeva okuli Benard Kanakulya, Mustafa Ssuuna, Terah Shafiq n’olukiiko lwonna okulengera ewala era n’abasaba batereeze omulimu nga balwanyisa ababbi. Baddereeva bamwanjulidde nti poliisi yabasaba dda okugiyambako okulwanyisa
abamenyi b’amateeka ababeerimbikamu. Ssentebe Banard Kanakulya yagambye nti ke bagguddewo ofiisi, eby’obubbi biweddewo nga bagenda kuyigga ababeerimbikamu.
Mu lukiiko mubaddemu ne ssentebe w’ekyalo Katooke, yingStephen Kaweesa eyabasiimye n’ategeeza nti bagenda kukolagana ne poliisi okulaba nti omulimu
gwabwe gutereezebwa.
Kyokka Ssekindi yabasomesezza nti buli ddereeva afube okuba muyonjo, bambale bulungi, bakozese olulimi olulungi ate bagondere abakulembeze. Yalabudde
n’abaserikale ba UTOF abayamba okusolooza omusolo nti tebakkirizibwa kutulugunya baddereevnga babowa mmotoka olw’okuba tebasasudde musolo.
Ssekindi yasabye abakulembeze bafube okukola ku nsonga ’okufuna ekifo we bakola paaka e Katooke nga mmotoka zonna eziva mu paaka enkadde, empya n’ey’e waise we zikung’aanira bawone okutikkira mu luguudo.
Yabasabye bakole ne SACCO egenda okubayamba okukulaakulana nga batereka n’okwewola ku magoba amatono. Ofiisi eyagguddwaawo e Katooke genda kugatta mmotoka ezitwala abasaabaze okuva mu Kampala okugenda e Wamala, Katooke, Kisimu, Nabweru, Kazo, Kibwa, Lugoba, Kafunda ne Yudesi era baddereeva basabiddwa okugondera abakulembeze nga babalung’amya.