Mubajje awangudde omusango gw’okweremeza ku Bwamufti

SHEIKH Shaban Mubajje awangudde omusango ogwali gwamuwawaabirwa abamu ku Basiraamu nga bamulanga okweremeza ku Bwamufti ate ng’awezezza emyaka 70 ekikontana ne ssemateeka w'Obusiraamu eyamussa mu buyinza mu 2000.

Mubajje
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

SHEIKH Shaban Mubajje awangudde omusango ogwali gwamuwawaabirwa abamu ku Basiraamu nga bamulanga okweremeza ku Bwamufti ate ng’awezezza emyaka 70 ekikontana ne ssemateeka w'Obusiraamu eyamussa mu buyinza mu 2000.
Omusango guno ogubadde ew’omulamuzi Benard Namanya owa Kkooti Enkulu ewozesa emisango gy’engassi, yagugobye n’agamba nti baagutwala mu kkooti nkyamu nga tesobola kutaawulula nsonga za ddiini nga bandizigonjooledde mu bakulembeze baabwe.
“Kkooti eno terina busobozi kubuuliriza na kugonjoola nkaayana za ddiini ezikwata ku kulonda omukulembeze w’Abasiraamu mu Uganda. Enkaayana zino zisobola bulungi okukolebwako abakulembeze b’Obasiraamu n’abagoberezi baabwe,” omulamuzi Namanya bwe yasaze.
Yategeezezza nti Ssemateeka wa UMSC awa enkola endala etegeerekeka ey’okugonjoola enkaayana nga bayita mu kakiiko k’Abasiraamu akasalawo n’okutabaganya abantu aka Muslim Arbitration and Conciliation Council (MAC), wansi w’ennyingo 28. Yagambye nti abaawaaba omusango guno bandisoose kwemulugunya mu kakiiko kano okusinga okugenda mu Kkooti Enkulu.
Omulamuzi era yagambye nti UMSC yeetongodde ekulembera obukadde bw’Abasiraamu kyokka abawaabi baalemwa okuleeta obujulizi nti obuyinza bwa UMSC, Gavumenti ebuvunaanyizibwako era tebuyinza kutwalibwa mu kkooti.
Yagobye okusaba kuno nti kino kijja kuyamba okussaawo okutabagana mu Basiraamu ba Uganda nga Ssemateeka wa Uganda, akawayiro 126 (2) (d) bw’agamba.
Omusango guno gubadde gwawaabwa Abasiraamu 4 okuli; Swaibu Nsimbi, Twaibu Byansi, Musa Kalokora ne Musa Kasakya era Mubajje baamuwawabira ne Uganda Muslim Supreme Council n’abantu abalala 43.
Mu nsonga zaabwe, babadde bagamba nti Mubajje yakoma okubeera Mufti wa Uganda nga March 12, 2025 oluvannyuma lw’okuweza emyaka 70 okusinziira ku ssemateeka wa Uganda Muslim Supreme Council.