GAVUMENTI ne kontulakita agenda okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka eya Standard Gauge Railway (SGR) bagamba nti kkampuni za bannansi zirina omukisa gw’okwenyigira mu mulimu gw’okuzimba oluguudo lw’eggaali luno olwa Malaba - Kampala.
Kkampuni za Bannayuganda zirina emirimu mingi gye zigenda okukola okuviira ddala ku kuwaayo ebikozesebwa nga seminti, ebyuma bya sitiiru, yinsuwa n’ebirala bye basobola okwenyigiramu. Enteegeragana eyakolebwa wakati wa minisitule y’ebyenguudo ne SGR, ebintu ebikozesebwa mu kuzimba ebitundu 40 ku 100, birina kuva mu Uganda.
Okugeza; kkampuni za Uganda ezikola seminti ze zigenda okuwaayo yenna agenda okweyambisibwa awamu ne kkampuni ezikola ebyuma ezaalagiddwa okwongera ku mutindo gusobole okutuukagana n’ogwetaagisa.
“Kimanyiddwa nti pulojekiti ennene ng’eno eganyula nnyo kkampuni za bannansi, era Gavumenti etaddewo enteekateeka y’okulaba nga bannansi ssekinnoomu bafunamu nga beenyigira mu bikolebwa n’enzirukanya ya pulojekiti.’ Canon Ying. Perez Wamburu, akwanaganya pulojekiti ya SGR bwe yagambye.
Ng’oggyeeko ebikozesebwa, waliwo engeri endala 25 bannansi ze basobola okuganyulwamu nga bapangisa ebikozesebwa, okusuza abakozi n’okubaliisa, ebyempuliganya, ebyobujjanjabi n’obuyambi mu by’amateeka.
Minisita w’ebyenguudo, Gen. Katumba Wamala yagambye nti oluguudo lwa SGR lwe lumu ku biteekeddwaako essira mu kaweefube w’okutuukiriza ebiruubirirwa bya National Development Plan Vision 2040 ne manifesto ya NRM.
“Mu kuteeka omukono ku ndagaano, nalagira kkampuni ya Yapi okukola omulimu nga gutuukana n’omutindo era bakakase nga teboonoona butonde bwa nsi yonna awagenda okuyita ekkubo lino,” Katumba bwe yagambye n’ayongerako nti; “Gavumenti etadde nnyo amaanyi ku nsonga y’okufuna ebikozesebwa okuva mu Uganda era ekirungi kkampuni za seminti n’ezikola ebyuma tuzirina. Kkampuni ezisinga ezaasabye ebintu bye zikola bituukagana n’omutindo gw’ensi yonna era aba Yali tebalina kyakwekwasa kyonna kuba n’abakozi tubalina.”
Mu October w’omwaka oguwedde, Gavumenti yassa omukono ku ndagaano y’okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka okuva e Malaba okutuuka e Kampala era kontulakiti yagiwa kkampuni ya Batuluuki eya Yapi Markezi ng’omulimu gwa kumalawo obuwumbi bwa doola za America busatu (eza Uganda zisukka obuwumbi 107,900). Kontulakita okuva mu June w’omwaka guno ali mu ggwanga bakola enteekateeka ezitandika.
Oluguudo lwa Eastern Route okuva e Malaba-Kampala lulina obuwanvu bwa kiromita 331. Enguudo endala ezijja okukolebwa mu maaso mujja kubeeramu olugenda e Rwanda, South Susan ne DR Congo.
ENGERI KKAMPUNI ZA
UGANDA GYE ZEETEGESE
Kkampuni za bannansi zirina okusoomoozebwa kwe zirina, ng’obutaba na ssente zimala. Abakugu mu by’okuzimba bangi bagamba kkampuni nnyingi tezirina ssente zeetaagisa, tebalina bukugu bumala kukola bintu bituukana n’omutindo gw’ensi yonna, ebikozesebwa bya buseere, ebintu ebibalemesa okuvuganya ne kkampuni eziva ebweru.
Okusoboka okunogera ekizibu kino eddagala, Katumba yagambye nti bakolagana n’ebitongole okuli ekiwooza ky’omusolo ekya URA, minisitule y’ebyensimbi n’ebitongole ekya Private Sector Foundation okuyamba kkampuni za bannansi nga babakendeereza ku misolo n’okubakwasizaako mu bintu ebisoboka. Gavumenti era efaayo okulaba nga yeewala okusemba kkampuni eziraga mu biwandiiko nti za Bannayuganda, kyokka nga bannyini zo bagwira
Aba kkampuni ezisuubirwa okuwaayo ebikozesebwa boogedde
Maneja avunaanyizibwa ku kukulaakulanya bizinensi mu kkampuni ya Roofings Group, Stuart Mwesigwa, yagambye nti bo beetegefu okwongera ssente mu mirimu gyabwe, okulaba nga batuukana n’omutindo kontulakita wa Pulojekiti y’eggaali y’omukka gwayagala. Yannyonnyodde nti babadde n’enkiiko nnyingi nga kkampuni ku Pulojekiti y’eggaali y’omukka, era okusinziira ku maanyi ge bazimbye, balina obusobozi okuwaayo ebikozesebwa byonna pulojekiti bye yeetaaga.
Kino Mwesigwa agamba nti kivudde ku tekinologiya ow’ekikugu gwe bakozesa, n’abakozi abali ku mulembe ate nga balina obusobozi. Mu mbeera eno, agamba nti beetegefu okwongera okuteekamu ssente bafune tekinologiya asingako batuukane n’omutindo ogwetaagisa ku pulojekiti eno.
Ebyuma byonna pulojekiti bye yeetaaga, agamba nti balina obusobozi okubikola, kasita babawa pulaani yaabyo.
Mu kiseera kino, kkampuni ya Roofings Group eri mu nteekateeka etuusa ebyuma ebyongera omutindo n’okusaanuusa eky’obugagga kya Iron Ore mwe bakola ebyuma bya sitiiru, okusobola okufuna obulungi mu ky’obugagga kino ekisimibwa mu Uganda.
Kkampuni ya Roofings Group, y’emu ku kkampuni ennene mu Uganda, ezikola ebizimbisibwa era ng’ebadde mu katale okumala emyaka 30, ng’ebalirirwamu obukadde bwa doola 400 (eza Uganda zibeera 1, 430,745,140,000/-).
Mu April w’omwaka guno, Pulezidenti w’ekibiina ekigatta ba kontulakita b’okuzimba (Uganda National Association of Building and Civil Engineering Contractors), Kiara Binta Nkuranga, yayogera ne ttiimu evunaanyizibwa ku pulojekiti y’eggaali y’omukka