Eyeekwatanga obutambi ng’ali n’abakazi bamusibye emyaka 18Eyeekwatanga

MALABO, EQ. GUINEAOMUKUNGU wa Gavumenti ya Equatorial Guinea, Baltasar Ebang Engonga, eyakola likodi bwe yeegadanga n’abakazi abasoba mu 400 nga bwe yeekwata obutambi, bamusibye emyaka 18, lwa kubba ssente za Gavumenti n’azikozesa okwesanyusa.Engonga ye yali akulira ekitongole ekirondoola entambula ya ssente mu ggwanga eryo, ekya National Agency for Financial Investigation, nga yakozesa obuyinza bwe, n’anyagulula eggwanga ssente ezikunukkiriza mu kawumbi kalamba aka ssente za Equatorial Guinea.

Engonga mu maaso g’abalamuzi. Mu katono bw’afaanana.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MALABO, EQ. GUINEA
OMUKUNGU wa Gavumenti ya Equatorial Guinea, Baltasar Ebang Engonga, eyakola likodi bwe yeegadanga n’abakazi abasoba mu 400 nga bwe yeekwata obutambi, bamusibye emyaka 18, lwa kubba ssente za Gavumenti n’azikozesa okwesanyusa.
Engonga ye yali akulira ekitongole ekirondoola entambula ya ssente mu ggwanga eryo, ekya National Agency for Financial Investigation, nga yakozesa obuyinza bwe, n’anyagulula eggwanga ssente ezikunukkiriza mu kawumbi kalamba aka ssente za Equatorial Guinea.
Ssente zino, Engonga yazikozesa okwegaggawaza, okukyakala n’abakazi, n’obulamu obw’ebbeeyi nga bannansi beerya nkuta. Engonga yeefuga amawulire mu nsi yonna, obutambi bwe nga yeegadanga n’abakazi abasoba mu 400 bwe bwasaasaana ne buleka nga buli muntu awuniikiridde.
Obutambi buno Engonga mwe yeefuumuulira, yabukwatanga yeegadanga n’abakazi ab’enjawulo, omwali ne bak’abanene mu Gavumenti, bakazi ba baganda be n’abalala.
Engonga empici yazeesezanga mu ofiisi, mu wooteeri, mu binaabiro, ne ku mbalama z’ennyanja.
Pulezidenti wa Equatorial Guinea, Theodore Nguema Mbasogo olwamanya ku bikolwa bya musajja we, n’amufuumuula n’alagira bamuvunaane.
Okusinziira ku mukutu gwa https://technext24.com, okuwozesa Engonga kwatandise ku Mmande ya wiiki eno, ng’ali wamu ne banne abalala bwe baakolanga mu minisitule, era ku Lwokusatu ne bamusomera ekibonerezo.
Kkooti yagambye nti yafunye obujulizi obumala, okusinziira ku akawunti za bbanka, Engonga kwe yatambulizanga omunyago, kontulakiti ez’ekifere, ebyobugagga bye yakweka mu mannya g’abantu be n’ebirala.
Wabula kigambibwa nti Engonga obubbi bwe, Gavumenti yali ebumanyiiko wabula bwe yafuna ekirowoozo ky’okwesimbawo ku Bwapulezidenti aggyeko Pulezidenti Nguemo, kwe kumukwata