Omuyimbi SemKDee yeefunyiridde okutumbula talanta z'abayimbi abato

OMUYIMBI Yusufu Ssemakadde eyeeyita SemKDee, eyali abeera e South Afrika akyagenda mu maaso n’okukwata ku bayimbi abato okulaba nga bakulaakulanya ebitone byabwe n’okubifunamu.

Omuyimbi SemKDee yeefunyiridde okutumbula talanta z'abayimbi abato
By Ssebanenya Emmanuel
Journalists @New Vision

Semkedde ye yayimba ennyimba nga ‘’Duka duka, Tokolagane, Mata buta, Africa ne Ye ggwe’’.

Abayimbi baakola nabo beebo abalina ennyimba ennungi kyokka nga tebamanyikiddwa nga n’ezimu tezinnaba kufuna mukisa kukubibwa ku leediyo ne ttivvi olw’embeera y’ebyenfuna. Kuno agasseeko okubategekera ekivvulu kye yatuumye ‘’Eky’ombo ky’omuziki’’ ky’agenda atambuza mu bifo eby’enjawulo okubatunda mu  bantu.

Ekyombo   Bibian Shine1

Ekyombo Bibian Shine1

Baasookera ku Ssenga K’S Dinner e Kyebando gye baakubira omuziki ogwasanyusa abantu. Kati beetegekera bbinu lye batadde ku Edmond Hotel e Kinnawattaka Road – Kireka nga October 29, 2022.

Semkedde yagambye nti alina abayimbi nga Chris Ssennabulya, Suga Flo ayimba Abababironi, Emmy Grace ayimba – Kibaluma, Veve Maani eyayimba ‘Omwana wa mesaaya’, Wonder Lady ng’ono mwannyina wa Kabuye Ssembogga ayimba ‘Empisa z’obufumbo’ , Bibian Shine ne City K Rose era nga bano baakwegattibwako muzeeyi wa Kaazi Kabuye Ssembogga eyayimba ‘Ebisaanyi’.

Ekyombo   Semkdde   Yusuf Ssemakadde

Ekyombo Semkdde Yusuf Ssemakadde