MWANA MUWALA Bad Black ng’amannya ge amatuufu ye Shanita Namuyimbwa, azadde mulenzi.
Ku Lwomukaaga, lwabadde lunaku lw’amazaalibwa ge era lwennyini, kwe yazaalidde omwana we owookutaano so nga y’asoose mu muganzi we Asha Panda, ye gwe yeeyitira ‘Slim daddy’.
Yamuzaalidde mu ddwaaliro lya IHK kyokka abamugoberera ku mikutu gye, bakira beebuuza nti oba omwana teyamulumye kuba obutambi bwe yayiyeeyo, ng’ali mu masappe gokka. Omwana yamuwa dda erinnya erya Jaasiel era bombi bali mu mbeera nnungi. Agamba nti kati yeesunga kugendako mitala wa mayanja kuwummulako n’okweggyako situleesi.