OMUYIMBI Ykee Benda abadde yaakasaba omuwala Emilly Nyawiro obufumbo, n’agenderawo mu bazadde abaamuzaala bamulabe mu butongole nti y’aperereza muwala waabwe.
Yakyaddeyo wiiki ewedde mu maka ga taata wa Nyawiro e Nalya era yavuddeyo yeewaana nga taata bw’amukkirizza n’amubuulira n’omuwendo gw’ente z’alina okutwala.
Waliwo ababitebya nti sipiidi kw’atambuliza ensonga zino, yandiba nga yeewala bavubuka kumukuba bbusu.
Ykee Benda, asuubirwa okwanjulwa mu September w’omwaka guno.