Alien Skin yeekokkola bannabyabufuzi!

OMUYIMBI Alien Skin yeevuma bannabyabufuzi b’alumiriza nti bamubuzizzaako obwekyusizo. 

Alien Skin yeekokkola bannabyabufuzi!
By Musa Ssemwanga
Journalists @New Vision
#Kasalabecca #Alien Skin #Bantu

OMUYIMBI Alien Skin yeevuma bannabyabufuzi b’alumiriza nti bamubuzizzaako obwekyusizo. 

Agamba nti mu bannabyabufuzi, mulimu abatamwagaliza kalungi nti era be bali emabega w’okupika mukyala we amuwaayiriza nga bw’amukuba n’obutalabirira baana. 

Agattako nti waliwo abaaguze n’ekifo w’abeera nga baagala aveewo wadde nga ye yeewaanye nti muntu mulungi atalina buzibu bwonna na bantu.