ABAYIMBI Dax Vibes ne muganda we Mike Wine, baakiguddeko nga bagenze okuyimba e Jinja, bwe baasibidde mu kaduukulu ka poliisi.
Omwogezi wa poliisi e Jinja, James Mubi, agamba nti bano bwe baamalirizza okuyimba mu kivvulu ku Ssande, ne bagenda ku ssundiro ly’amafuta erimu okubaako bye bagula nga we baasanze omusajja Ibra Hussein gwe baafunye naye obutakkaanya.
Nti era Mike Wine yawaanyisigannyizza ebigambo naye wabula embeera n’esajjuka ne bagenda ku poliisi y’e Jinja okugonjoola ensonga.
Ibra yagguddewo omusango ku Mike Wine okumutulugunya ate ne naye Mike Wine n’amuggulako ogw’okwagala okwonoona erinnya lye.
Oluvannyuma baateereddwa ku kakalu ka poliisi kyokka ate oluvannyuma, Dax Vibes n’alumba Ibra nga bakyali ku poliisi naye n’akwatibwa.