Shanita Namuyimbwa, amanyikiddwa nga Bad Black, atabuse, agamba kati enkolagana ye ne Yesu Kristo yeesiimisa.
Agamba nti Ye muntu afuga obulamu bwe bumuli mu ttaano, ye yeesalirawo ky'ayagala, era alina obukyayi bungi eri abalogo.
"Sikola bulogo ng'abamu ku bakyala mu Kampala bwe bali. Nsaba Katonda aggule enzigi, era akikola buli lwe mukoowoola. Y'ensonga lwaki nkyali mulamu leero," Bad Black bwe yagambye mu ng'ali ku ttivvi emu.
Bad Black ayongerako nti okuva lwe yasenga Yesu akutula ddiiru za ssente ensava.