MWANAMUWALA Bad Black ali ttu era okusanyusa olulenzi lwe olwamutuusizza ku kkula lino, agambye nti agenda kuluzimbira ennyumba amatiribona.
Bad Black n’omulenzi we Asha gwe yakazaako erya Slim Daddy, bamaze ebbanga nga baagalana era bombi basanyufu nti bagenda kufuna ezzadde wadde nga Bad Black alinayo abaana be yasooka okuzaala awalala.