Omuyimbi Grace Khan abadde atubidde mu nkuyanja y'emitawaana atwalidde mu 'Rehab' okubudaabudibwa n'okulaba nga obwongo bwe budda mu nteeko.
Kino kiddiridde Grace Khan n'omuyimbi Kid Dee okulwanira ku Papa's Spot e Makindye lwa Kid Dee kulumiriza nti omwana Khan gw'alina wuwe era ayagala DNA. Baasoose kuyomba kwewumula na kulwanagana.
Mu ngeri ey’okufaayo, Bad Black yazudde Grace Khan n’amukwasaganya okuyingizibwa mu kifo ekiddaabiriza abantu.
Obubonero bubadde bweraga lwatu nti Grace Khan yeetaaga kuyambibwa olw'okusoomoozebwa kw'abadde ayitamu okuva lwe yazaala bbebbi we n'eky'okuba nti abaddewo n'omwana we bwannamunigina.
Ng’ayita ku mikutu gya yintaneeti, Bad Black yagumizza abawagizi ba Grace Khan nti ye ne muwala we bali mu kikonmo gye era bali bulungi, tebalina bulabe bwonna, era ali mu kufuna obujjanjabi n'okubudaabudibwa okwetaagisa.