Abantu banyumiddwa ekivvulu kya Karole Kasita ne Dr. Lawrence Muganga owa Victoria University be bamu ku babaddeyo nga bano bataddemu ne ssente.
Abantu obwedda bakuba enduulu nga Karole Kasita beeraga omukwano ne Feffe Bussi wano yafukamidde ne yeebaza abantu bonna abazze okumuwagira kwossa n'abaamutaddemu ssente.
Karole Kasita yawerekeddwako abayimbi okwabadde; Eddy Kenzo, Spice Diana, Vyroota, Jose Chameleon wamu n'abalala bangi bano babadde ku UMA Show Grounds e Lugogo.