Poliisi eggye sitetimenti ku bajulizi ba MC Kats abalumiriza Alien Skin

POLIISI y’oku Jinja Road mu Kampala, eggye sitetimenti ku bajulizi 2, ku musango ogwawaabiddwa MC Kats ng’alanga omuyimbi Alien Skin okukozesa omutimbagano okumutiisatiisa n’okutyoboola erinnya lye.

Poliisi eggye sitetimenti ku bajulizi ba MC Kats abalumiriza Alien Skin
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Bayimbi #Kasalabecca

POLIISI y’oku Jinja Road mu Kampala, eggye sitetimenti ku bajulizi 2, ku musango ogwawaabiddwa MC Kats ng’alanga omuyimbi Alien Skin okukozesa omutimbagano okumutiisatiisa n’okutyoboola erinnya lye. Era yagguddewo n’omusango omulala ng’avunaana Ibra ne banne.

Alien Skin Ng'ayimba.

Alien Skin Ng'ayimba.

Bino byabaddewo oluvannyuma lw’ekivvulu ky’omuyimbi Geo Steady ekyabaddewo ku Lwokutaano ku Hotel Africana. Mu kivvulu kino, MC Kats yabadde omu ku bakalabaalaba b’omukolo (MC) era kigambibwa nti obudde bwa Alien Skin obw’okuyimba bwatuuse era ne bamulangirira, MC Kats yasigadde n’akazindaalo nga kiraganga atayagala Alien ayimbe.

MC Kats agamba nti, omuvubuka gw’amanyi nga Ibra ng’alina enkolagana ne Alien Skin yamulumbye ku siteegi n’amuwalaawala okumuggyawo ne bamukuba. Alien yalinnye ku siteegi n’ayimba.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiraraano, Patrick Onyango yakakasizza nti Kats yagguddewo emisango egyo era eggulo (ku Mmande) abajulizi be baagenze ku poliisi ne bakola sitetimenti era yo poliisi ekyakola okunoonyereza okulala.

Mc Kats (wakati Mu Biddugavu) Ng’akaayana N’abaabadde Bamuggya Ku Siteegi.

Mc Kats (wakati Mu Biddugavu) Ng’akaayana N’abaabadde Bamuggya Ku Siteegi.

Onyango era yagambye nti Kats baamuwadde ebbaluwa za poliisi ez’omusawo agenda akeberebwe ku by’okumukuba wabula tannazizza.

Akakuku ka MC Kats, kaatandikira ku mwana ayitibwa Champion Gudo, atambula ne Alien Skin nga MC Kats alumiriza nti Alien takoze kimala naddala ku by’okumusomesa.
Wadde akavuvuhhano kaabaddewo, ekivvulu kya Geo Steady kyo kyagenze mu maaso era abadigize ne banyumirwa.

 Abayimbi nga; Jose Chameleone, Eddy Kenzo, Lydia Jazmine, Karole Kasita, Mike Wine, Kapa Cat, Fik Fameica n’abalala baasanyusizza abantu.

Abadigize Abaabadde Banyumirwa Omuziki Gwa Geo Steady

Abadigize Abaabadde Banyumirwa Omuziki Gwa Geo Steady

Login to begin your journey to our premium content