Karole Kasiita ne Fefe Busi bakubye abadigize ebipapajjo bya laavu ne babaleka nga babatenda okwagalana bwe babadde mu kivvulu kya Karole Kasiita ekya Chekecha ku UMA Show Grounds Lugogo.
Karole Kasiita N'abazinnyi Be Nga Basanyusa Abawagizi Abazze Mu Kivvulu.
Eggulo ku Lwokutaana nga November 17, 2023, bakira beeyita obugambo abantu abali mu mukwano bwe bakozesa ng'eno bwe beekuba obwama mpozi n'okwegwa mu kifuba wama gwe abawagizi ne balaya enduulu.
Kasiita Ne Busi Nga Beenywezezza Okufa Obufi.
Spice Diana yatuuse n'okubagamba nti baagala mwana mulala ng'alinga agamba nti owa Kasiita kituufu Fefe y’amuzaala. Bwe baatuuse okuyimba oluyimba lwe baakola bonna lwe Muhammad Ali wamma ggwe ate ne kisukka!
Maama Wa Karole Kasiita (wakati) Yabaddewo Nnyo Okwerabira Ku Muwala We.
Bombi baafunye ggiraavuzi ezikuba ebikonde nga Kasiita agamba Fefe mbu yamugamba okukola "dduyiro" nga ye nsonga lwaki yasobola okuddawo amangu ng'amaze okuzaala. Karole yakubye abawagizi be omuziki n’abaleka nga bamunyeenyeza mutwe ng’embuzi etenda enkuba.