'Nnasalawo okuzaala kuba ekiwubaalo kya Covid kyali kinzita'

Omuyimbi Karole Kasita agamba nti yasalawo okuzaala omwana mu kiseera ky’omuggalo gwa COVID-19 kubanga ekiwuubaalo kyali kimutta.

'Nnasalawo okuzaala kuba ekiwubaalo kya Covid kyali kinzita'
NewVision Reporter
@NewVision

Omuyimbi Karole Kasita agamba nti yasalawo okuzaala omwana mu kiseera ky’omuggalo gwa COVID-19 kubanga ekiwuubaalo kyali kimutta.

Agamba nti yafumitiriza ng'alaba ayinza obutaddamu kufuna budde bufaananako nga bwe yafunira mu muggalo naddala singa afuuka omuyimbi ow'ettuttumu. 

Omwaka oguwedde Kasita yazaala omwana we ow'obulenzi King wadde nga kitaawe omutuufu yagaana okumwasangaza. Abagasomera mu bbaasa babitebya nti muyimbi munne Fefe Bussi yandiba nga ye taata King omutuufu.

Bino we bijjidde nga Karol ateekateeka kutongoza kivvulu kye ekisoose bukya ayingira nsiike ya kuyimba. Ekivvulu kiri ku UMA e Lugogo. 

Login to begin your journey to our premium content