Omuyimbi Banina asabudde aba yunivaasite omuziki n'abaleka nga basaba anko!

ABAYIZI n'abadigize babinuse masejjere ng’abawulidde ennyimba z'omuyimbi Chris Banina bw'abadde atongoza oluyimba lwe olupya lwe yatuumye Kanywe Okawulire.

Omuyimbi Banina asabudde aba yunivaasite omuziki n'abaleka nga basaba anko!
NewVision Reporter
@NewVision
#Chris Banina #Bayizi #Yunivaasite #Professor Muganga

ABAYIZI n'abadigize babinuse masejjere ng’abawulidde ennyimba z'omuyimbi Chris Banina bw'abadde atongoza oluyimba lwe olupya lwe yatuumye Kanywe Okawulire.

Omuyimbi Banina (ku kkkono) ne Polof Muganga (amuddiridde) nga bali ku siteegi.

Omuyimbi Banina (ku kkkono) ne Polof Muganga (amuddiridde) nga bali ku siteegi.

Oluyimba yalutongolezza ku Victoria University mu Kampala, ku Lwokutaano akawungeezi. Yabadde awerekeddwaako bayimbi banne okwabadde Mudra, Karole Kasita, Victor Ruz n'abalala.

Abayizi ba ssetendekero eno abanyumirwa okucakala bajjuzza ekifo ne kibooga era bakira Banina akuba ennyimba ze enkadde okuli I'm in the corner, Like I do, Nze Amulina n'endala ng abo bwe bamugoberera.

Abamu ku bayizi abanyumirwa omuziki abaabaddeyo.

Abamu ku bayizi abanyumirwa omuziki abaabaddeyo.

Akulira Victoria University, Polof. Dr. Lawrence Muganga yagambye nti babadde bakola butassa mukka okulaba ng'oluyimba olupya lufuluma nga lwa mutindo.

Yagasseeko nti vidiyo y'oluyimba babadde balina okulinnyisa Banina ennyonyi okugenda wabweru bagikwate. Mudra yasiimye Dr. Muganga olw'okutumbula ebitone by'abayimbi.

Login to begin your journey to our premium content