MAAMA King, mmwe gwe mumanyi nga Karole Kasita, omwaka guno gukyamutambulira nga bwe yagubala.
Yeeyiyeemu mmotoka kapyata ekika kya benzi.
Benz Empya Gye Yafunye.
Era okumanya yabadde musanyufu, yeewaanye nti bukya atandika kuyimba, eno ye mmotoka gy’asoose okwegulira ku ssente ze ng’endala z’abadde avuga, wabaddewo abazimuguliranga.
Gye buvuddeko, yali avuga benzi enzirugavu nga ya wansiko wabula kigambibwa nti eno, waliwo omusajja eyagimugulira mbu era bwe yafunamu okwekengera nti Kasita yandibaamu enkolagana ey’enjawulo ne Fefe Bussi, mbu n’agimuggyako.
Oba bino abantu babiggya wa?