Luzinda akubye ab'e Kalungu omuziki n'abaleka nga basaba anko

SERWUTI Band ey'omuyimbi Jovan Luzinda ekubye ab'e  Kalungu omuziki ku lunaku lw'okujjukira abajulizi, katono obudde bubakyeko nga balaba.

Jovan Luzinda owa SERWUTI Band ng'alaga ab'e Kalungu ky'alinawo mu mazina.
By John Bosco Sseruwu
Journalists @New Vision

Ekibbiitu kino kibadde mu kifo ekisanyukirwamu ekimanyiddwa nga NANA Hotel e Lukaya era abayimbi ba SERWUTI Band obwedda abafukumula ennyimba ez'okumukumu ezitaganyizza badigize kuva mu kifo.

Baawerekeddwako Gravity Omutujju, Stabua Natoolo, Shirah Ssekyanzi owa Kokoonyo, Saudah Baagala, Lady Grace, Grace Khan, Kamulegeya Mazzi ga Bbowa n'abalala okubadde ba kazanyirizi MC Mariachi, Taata Kimbowa ne Kimbowa abaaseseza abalabi kumpi kwagala kubajjamu mbiriizi.

Jovan Luzinda weyatuukidde okukiggala n'ennyimba ze ennyuvu okuli Ninga Mutamiivu, Embooseera, Nalaalira olupya n'endala ng'abadigize basaba kubata badde eka anti nga ssaawa ziweze 11 zennyini ez'oku makya.

Abantu nga bannyumirwa endongo ya SERWUTI Band mu butebe

Abantu nga bannyumirwa endongo ya SERWUTI Band mu butebe

Omuziki gwa SERWUTI Band nga gujje abadigize mu butebe

Omuziki gwa SERWUTI Band nga gujje abadigize mu butebe

Jovan Luzinda owa SERWUTI Band ng'akookera ab'e Kalungu

Jovan Luzinda owa SERWUTI Band ng'akookera ab'e Kalungu

Saudah Baagala ng'ayimbira ab'e Kalungu

Saudah Baagala ng'ayimbira ab'e Kalungu