Omuyimbi King Michael alaze nti mwetegefu okwegatta ku kibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform.
Yannyonnyodde nti yeetaaga nnyo omukisa gya Bobi Wine kubanga ayagala kukyusa bulamu bwe.
King Michael yagambye nti abo Pulezidenti wa NUP be yawandako eddusu bali mu kwenogera ssente, beekolera obugagga.
"Big Eye kati aliisa buti, yeeyagala. Anyumirwa, era emikisa okuva ewa Bobi Wine gyamukolera. Nange nteekateeka okubeegattako mu bbanga ttono nfune ku mikisa,: King Micheal bwe yategeezezza.