Mmeeya w’e Kawempe takwata ku by’atawagira

Bwe baabadde mu kusaba kw’okusiibula omugenzi Florence Nakigudde Kataza maama wa Rev. John Kiyingi ow’e Mpereerwe mu kkanisa e Mpereerwe, waabaddewo akazindaalo akaliko akagoye aka kyenvu era aboogezi bonna ke baakozesezza. 

Mmeeya w’e Kawempe takwata ku by’atawagira
By Musa Ssemwanga
Journalists @New Vision
#Kasalabecca #Kuwagira #Mmeeya #Kukwata

MMEEYA w’e Kawempe, Emmanuel Sserunjogi teyeesembereza by’atawagira. 

Bwe baabadde mu kusaba kw’okusiibula omugenzi Florence Nakigudde Kataza maama wa Rev. John Kiyingi ow’e Mpereerwe mu kkanisa e Mpereerwe, waabaddewo akazindaalo akaliko akagoye aka kyenvu era aboogezi bonna ke baakozesezza. 

Rev. Meerewooma Ng'akutte Akazindaalo Akaliko Kyenvu

Rev. Meerewooma Ng'akutte Akazindaalo Akaliko Kyenvu

Wabula Sserunjogi bwe yatuuse okwogera, n’aggyako akagoye aka kyenvu, n’alyoka ayogera. Wano abamu we beebuulizza nti ate kkala ya kyenvu nga yamutuuka bulala!

 Abalala nga bwe beewuunaganya nti bannabyabufuzi bwe batyo nti era ekiseera kye tulimu kyekyo, buli omu okukola obubaddi obubayisaawo. 

Sserunjogi wa bimyufu era wa kibiina kya National Unity Platform. Omugenzi Nakigudde yaziikiddwa Bukuya mu Ssingo ku Lwokutaano.