Juliana Kanyomozi akomeddewo mu ggiya

Mwana muwala Juliana Kanyomozi akomeddewo mu ggiya. Ku Mmande yalangiridde nga bw’ategese ekivvulu ku Serena Hotel mu Kampala nga August 15, 2022.

Juliana Kanyomozi akomeddewo mu ggiya
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Kino kizze oluvannyuma lw’okumala ebbanga ly’amyaka ng’esatu nga talabikako ku siteegi.

Ate ekivvulu kyategese kirabika ky’abantu abaakolamu bokka kubanga okuyingira osasula 150,000/- n’emmeeza obukadde busatu nga bw’oba oli mu bano abawoza ‘‘economy’’ soma ekonome etunyiga oyinza okumusubwa.

Agava mu kisaawe ky’okuyimba gagamba nti abavubuka ba B2C be baasooka okuteekayo ekivvulu ekigenda okubeera ku Freedom City ku lunaku luno.

Kyokka abagoberera ebya muziki bagamba nti abawagizi ba Juliana Kanyomozi baawufu nnyo ku ba B2C nga bw’olaba n’ebifo gye bategekedde bwe byawukana.

Gye buvuddeko Juliana yalina ekivvulu kye yalina okuyimbako mu Club Govnor kyokka n’atayimba oluvannyuma lw’abategesi b’ekivvulu kino obutatuukiriza byabasabibwa.