MUNNAKATEMBA John Ssegawa ne Mariam Ndagire baaliko mu mukwano era ne bazaala n’abaana.
Mu ngeri y’okwebaza ebirungi Mariam Ndagire bye yamukolera, John Ssegawa yeekubye tattu y’erinnya lye ku mukono ogwa ddyo.
Ssegawa ne Mariam nga gukyabasaza mu kabu.
Tattu eno eri mu lulimi Luchayina era Ssegawa agamba nti ensonga lwaki yagyekubye, kwe kusiima ebirungi Ndagire bye yamukolera ate ng’era yaliko mukyala we.
“Sisobola kumusangula mu bulamu bwange, ankoledde ebintu bingi,” Ssegawa bwe yagambye.