Ssemanda nga tannatuusibwa ku Poliisi alaajanidde mu kkubo bamutwaleko ewa ssentebe Mukiibi waakiri amwegayiririreko.
Bw'atuusiddwayo, Ssemanda yeegayiridde nga bw'ataaja nti akaddiye ate mulwadde mu ky'okumusiba bamuggyeko omulimo.
Ategeezezza nti alina emyaka 51 nga nzaalwa y'e Kyotera wabula n'alemwa okunnyonnyola lwaki omwenge gw'amufuukira eky'ebikkwa ng'alaba takyalina ky'azza.
Ssentebe Mukiibi naye omusomesa alayidde nti kikafuuwe okukkiriza Heedimansita omutamiivu waddanga okukulembera essomero lyonna mu disitulikiti gy'akulembera n'agamba nti ekya Ssemanda kyo kissuse kuba atasobola na kweyonja ng'omusomesa.
Mukiibi awagidde ssentebe wa LCIII e Lwabenge David Balemeezi Ssegawa akukwata Ssemanda n'amuggya ku ssomero lya Gavumenti erya BWESA COPE Primary.
Bamwongeddeyo ku kitebe kya Poliisi e Kalungu ne bamukwasa DPC Charles Okello n'amuggulako ogw'okufuuka ekitagasa mu lujjudde.
Ssentebe Mukiibi ng'atabukidde Ssemanda
Heedimaasita Ssemanda ng'atunula kalyolyongo nga embwa eyota enkoomi!
Ssemanda ng'agezaako okubannyonnyola
'Okuva lwe baggala amasomero mbadde mu kwenywera ku kenge naye ng'enda kukyusa kasita amasomero baagagguddewo'
Ssemanda yatulise n'akaaba nga bamusalidde ogw'okunywa omwenge n'afuuka ekitagasa
'Mwenge ggwe olaba bw'onsuzizza mu kaduukulu'
Ssemanda nga bamwongerayo mu kaduukulu
Baamukubye ne jeeke si kulwa ng'abaddukako! Naye nga waliyo omutamiivu asobola okudduka???