E Mukono kkamera zaffe bwe zibadde zitalaaga ekibuga gye zigwiridde ku mumyuka w’omubaka w’omukulembeze w’eggwanga atwala ekibuga ky’e Jinja ekitundu ekya Jinja city South, Mike Ssegawa nga naye emmotoka y’emirimu gy’alina okutambuliramu yagipaakinze n’abuukira ka bodaboda okusobola okunona omwana ku ssomero.
Mike Ssegawa, RCC wa Jinja City South ku bodaboda n'omwana ng'ava ku ssomero.
Ssegawa mutuuze w’e Mukono era okufuuka RCC yabadde kkansala ku lukiiko lwa munisipaali y’e Mukono.
Ono munnamawulire mutendeke era musuubuzi nga mu Mukono alinamu bbizinensi eziyimiridde. Oba olw’okubeera omusuubuzi kwe kubalirira ennyo n’ayagala kudibuuda, ekyo naffe tetumanyi!!