Heedimaasita omwenge gwe gwawasa bamututte talinnya: Ssentebe amusikambudde mu ofiisi wuuyo ku Poliisi

 Ennyambala ya Heedimansita Ssemanda nayo ebadde yeesisiwaza gattako ekya ssentebe okumuggyisaayo ekindaazi kye yabadde atadde mu nsawo y'empale ng'akiriddeko.    

Heedimaasita omwenge gwe gwawasa bamututte talinnya: Ssentebe amusikambudde mu ofiisi wuuyo ku Poliisi
By Ssennabulya Baagalayina
Journalists @New Vision

SSENTEBE w'eggombolola atabukidde Heedimansita w'essomero lya Gavumenti erya Bwesa COPE Primary School e Lwabenge mu Kalungu akedde ku ssomero nga yenna atamidde ebitatagambika  bw'amusikambudde mu ofiisi  n'akwasibwa Poliisi akangavvulwe.

Wadde ng'afukamidde n'amaziga  bwe gamuyitamu n'okwegayiriza amusonyiwe obutamuggalira byonna bibadde bya ppa!

8f7cd111 9266 4368 97c4 Ce1dae70ec7b

8f7cd111 9266 4368 97c4 Ce1dae70ec7b

530e9382 3023 40eb 8dcd 6d2c217026bf

530e9382 3023 40eb 8dcd 6d2c217026bf

Abamu ku bazadde n'ekitundu abalabye Heedimansita ng'akwatibwa bategeezezza nti endabika y'essomero n'alikulira bikyabatiisizza okulizzaamu abaana.

Ssentebe David Balemeezi Ssegawa w'akwatidde Heedimansita Samuel Ssemanda (51) ng''abayizi 13 bokka be baakawandiikibwawo sso ng'esomero litandikira ku P1 ppaka ku P7.

420080be 6fe6 4912 A223 Bb942e99e5a9

420080be 6fe6 4912 A223 Bb942e99e5a9

5ef21e0d Db97 4aa9 A584 8f15eba53f10

5ef21e0d Db97 4aa9 A584 8f15eba53f10

Ssegawa asoose kussa Ssemanda ku nninga olw'okuttattana essomero ng'azannyira mu ssente y'omu w'omusolo n'ataddaabiriza bintu bya ssomero ebimukwasibwa.

Mu by'amuvunaanye mubaddemu ttanka y'amazzi g'agakozesebwa kw'ogatta ebyo mu ofiisi n'ebirala so nga Gavumenti emuwa ssente zaabyo n'amuvunaana okupangisa ekisaawe ab'ebidongo nga takkiriziddwa.

1f5e8746 B010 41cb 8105 7d8bc4d707b2

1f5e8746 B010 41cb 8105 7d8bc4d707b2

13934453 6de8 4b75 A262 96204a819775

13934453 6de8 4b75 A262 96204a819775

Ssemanda olw'akitegedde nti atwalibwa ku Poliisi amameeme gaamukubaganye nga bwe yegayirira.

Wano Ssegawa akyusizza mu lulimi n'atabuka nti tayiinza kugumiimiriza mutamiivu waddanga kukulira ssomero mu Lwabenge atwalibwa ewalala.

5f569ed8 2239 4498 90fa 07e800d22384

5f569ed8 2239 4498 90fa 07e800d22384

Amwekungulizza mpaka ku Poliisi e Miwuula emulagidde amwongereyo ewa mukamaawe akulira ebyenjigiriza Heziron Kayinga nti y'avunaanyizibwa ku by'okumuvunaana mu mateeka.