Bya Johnbosco Mulyowa
Eyali Omuyimbi wa Kadongo Kamu Vincent Ssegawa nga kati yeeyita Lukuman Ssegawa afunvubidde mu kubunyisa okubuulira enjiri y'eddiini y'Obusiraamu n'okuvumirira okuyimba.
Ssegawa agambibwa okuba nga yaakamala ennaku ssatu mu kibuga Kaliisizo ng'atambula abuulira abantu enjiri y'Obusiraamu tumuguddeko mu kibuga Kaliisizo ng'ali mu bakyala abasuubula emmere ng'abategeeza nga bwe balina okusiramuka.
Ssegawa atuuse ekiseera n'asaba akatebe atuuleko wansi olw'obukoowu era obwedda abuulira enjiri ngeeno abamu bwe bamuwa ku by'okunywa oluvannyuma lw'okubategeeza nti enjala ennyonta bibadde bimuli bubi!
Agambye taliddamu kuyimba era okuyimba kubi, Allah takwetaaga kuba ewabeera ebiddula wavaawo emize emirala mingi okuli n'obwenzi !