Grace Khan azadde kasukaali

OMUYIMBI w’ekibiina kya Da Nu Eagles amanyiddwa nga Grace Khan essanyu limubugaanye abasawo bwe bakamutemye nti azadde mwana wa buwala kubanga gwe yali yasabirira obwedda.

Grace Khan azadde kasukaali
By Lawrence Mukasa
Journalists @New Vision

Grace Khani okwogera bino yabadde ku kitanda e Lubaga gye yazaalidde omwana we asooka gwe yatuumye Ilonna Grannah ne yeebaza abantu bonna abamubeereddewo okuva lwe yafuna olubuto okutuusa okuzaala n'asiima nnyo abasawo ku ddwaliro lino okukola obutaweera n'asobola okusumulukuka obulungi.

Cadc6039 2138 4766 B77d 94038040a96e

Cadc6039 2138 4766 B77d 94038040a96e

Grace Khan bwe yabuuzidwa ani taata w'omwana yagaanye okubaako ky'ayogera n'ategeeza nti ajja kumwogera nga akadde katuuse ekikulu kye yabadde afa kyakuzaala naye afune omuntu amuyitako maama nga bw'alaba banne abalala kyokka ababaddewo baagambye nti kivudde ku kyakuba nti abadde nga n'abasajja abenjawulo y'ensonga lwaki kikyamubeeredde kizibu okwogera taata w'omwana omutuufu.

8f5ca4d4 7f69 424f Bf35 Cb7364ee7ee2

8f5ca4d4 7f69 424f Bf35 Cb7364ee7ee2

Ono yasinzidde wano n'asaba bawala banne naddala abayimbi obutapapa kuzaala kubanga balaba gundi azadde n'abasaba okuzaala nga bawulira nti batuusizza.

 

Bayimbi banne ne mikwano gye nga bakulembedwamu omuyimbi Flash Love baagenze mu ddwaliro ne bamulabako kyokka yabassizza enseko bwe yabagambye nti ku ngeri olubuto gye lumulumyemu tayinza kuddamu kuzaala kuba bulijjo awulira biwulire.