Omukwano wakati w’abayimbi Prince Omar (amannya amatuufu Mukose Umar) ne Grace Namuwulya (amanyiddwa nga Grace Khan) ogubadde gutinta budinda guzzeemu kigoye weezinge oluvannyuma lwa bazadde ba Prince Omar okugaana okubawa omukisa.
Bano bamaze kati omwezi mulamba nga batijja, beeraga amapenzi mu lujjudde ku mikutu gyabwe egy'emitimbagano nga Grace awoza kimu, " Daddy Grannah weeebale kukomawo waka".
Omukwano nate okujjamu omukoosi kiddiridde bazadde ba Prince Omar okumussaako amateeka amakakali wakati w'enkolagana ye ne Grace Khan.
Bino webijjidde nga Omar ky'aggye akkirize obuvunaanyizibwa bwe nga Taata w'omwana.
Bazadde ba Omar bakyagaanye okukkiriza Grace Khan okuggyako nga atuukirizza obukwakkulizo obumu omuli eky'okusiramuka kuba tebaagala mwana waabwe kuwasa mukyala atali Musiraamu ne bagattako okutiisatiisa okuzaalukuka mutabani waabwe singa yeewaggula.
Prince Omar eyabadde ayogera nga munakuwavu yagambye tamanyi lwaki kitaawe akyagaanye okubawa omukisa gw'omuzadde nga yeekwasa ensonga y'eddiini y'Obusiraamu eya 'Sharia Law'. Bino byonna baabyogeredde ku mikutu gyabwe kwe babadde basinziira okweraga amapenzi, okwenywegera n'okwewaana ng'era abantu abali mu mukwano bwe babeera!
Oba binaggwa bitya, nze naawe! Ka tubasabire Katonda abateeremu obwangu.