Prince Omar akubyeko Grace Khan ekibaati!

PRINCE Omar yasooka okwegaana Grace Khan kwossa n’omwana gwe yali amuzaddemu wabula oluvannyuma lwa DNA eyakolebwa, Omar n’apondooka. 

Prince Omar akubyeko Grace Khan ekibaati!
By Musa Ssemwanga
Journalists @New Vision
#Prince Omar #Grace Khan #Kibaati #Bayimbi

PRINCE Omar yasooka okwegaana Grace Khan kwossa n’omwana gwe yali amuzaddemu wabula oluvannyuma lwa DNA eyakolebwa, Omar n’apondooka. 

Gye buvudeko, Prince Omar yeewuunyisizza abantu bwe yavuddeyo n’akakasa nga bwe yafunye omuwala omulala era takyali mu mukwano ne Grace Khan maama w’omwana we.

Ng’ayita ku mukutu gwe ogwa ‘Facebook’ yavuddeyo n’alaga nti ali mu mukwano wabula si ne Grace Khana ekyewuunyisiza abantu.

Grace Khan gye buvuddeko yalokoka era obulamu n’abuwaayo eri Mukama era takyava mu kkanisa ya Pastor Bugingo.