OMANYI munnamawulire Farouq Ssekakozi ng’ono eyeeyita Serkoz ku wikendi, y’omu ku bantu ababadeyo n’ebivvulu bwe yategese kye yatuumye ‘Emboozi mu Kati’ ekyabadde ku Tavern Woods e Kabuusu. Farouq Serkoz Owa Gossip Live Ng'ayogera.
Ssekakozi ng’ali wamu ne banne okuli Haruna Mawa, David Lubowa (Davicom), Farouq Ali, Duncan Mugisha ne Elimia Masembe bakung’aanyiza abagoberezi baabwe mu kivvulu kye batuumye Emboozi mu Kati bwe babadde bajaguza olw’ebyo byebatuseko.
Omuziki Bano Gwabakutte Wansi Ne Waggulu.
Abayimbi okwabadde Messach Ssemakula, Aziz Azion, Henry Mwanje, Grace Khan, Lil Pazo, Kazibwe Kapo, Haruna Mubiru n’abalala bangi babaddeyo okusanyusa abadigize nga kuno kw’ogasse ne bannakatemba. Messach ng'ayimba.
Ekivvulu kyazzeemu ebbugumu olw’abasama okwabadde Roy Mubiru, Beksue ow’e London n’abalala okuyingirawo olwo nno ne batandika okumansa ssente nga abatazaagala!