OMUKULU w’essomero eyaleega abazadde fiizi n'alemesa abayizi okwewandiisa okukola ebigezo bya PLE olw'okulemwa okusasula ssente asimbiddwa mu kkooti.
Abayizi bana abaali balina okutuula ebigezo byabwe wakati wa 2022 ,2023 ne 2024 baakakakibwa okusasula ssente olwo bakkirizibwe okwewandiisa okutuula ebigezo kyokka abazadde bwezabalema, ne bagobwa.
Omusomesa Herbert Musasizi 55 ayakulira essomero lya Kebisoni Integrated Primary School yakwatiddwa wamu ne Paddy Twesigye 64 ssentebe w’essomero ,Edith Ankunda 64, Jolly Tumwesigye, Fred Kayabuki , Eve Kobusingye ,Obed Baryaija ne Beartice Muhairwe abatuula ku lukiiko oluddukanya essomero eryo.
Akakiiko ka State House Anti - Corruption Unit beebakutte abakulu bano oluvanyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu bazadde ku ssente zebabakanda okuwandiisa abayizi.
Kigambibwa nti wakati wa May 2023 ne August 2023 Musassizi yagoba omuyizi Anthony Alinda ku ssomero okumala ennaku bbiri bweyali alemeddwa okusasula ssente ezamusabibwa ate mu February 2024 ne may 2024 Musasizi yagoba Ignatius Ainebyona.
Bonna awamu baavunaaniddwa okwekobaana okubigika abazadde b’essomero eryo ssente ekyalemesa abayizi okusoma n’okukola ebigezo byabwe.
Baasimbiddwa mu kkooti y’eddaala erisooka e Rukungiri nebasomerwa emisango era bonna nebagyegaana, omulamuzi yabayimbudde ku kakalu ka kkooti nabalagira okudda mu kkooti nga August 26,2024 okuwulira emisango.