PULEZIDENTI wa Uganda Federal Alliance, Dr. Luggya Kayingo awezezza ennaku 13 nga talabikako, okuva bwe yawambibwa ku kisaawe e Ntebe ng’ava e South Africa, ekyongedde okweraliikiriza ffamire ye ne mikwano gye.
Omu ku booluganda lwa Kayingo, Claire Nakimuli yagambye nti basula ku maggwa, nga beebuuza ensonga lwaki omuntu waabwe yawambibwa, kyokka abaamuwamba ne basalawo okusirika obusirisi, olwo ffamire n’esigala mu kweraliikirira.
Nakimuli yagambye nti Kayingo bwe yatuuka ku kisaawe e Ntebe, baamulinda afulume naye nga tafuluma, era waayita akaseera katono n’amukubira n’amugamba nti bamukwatidde ku kisaawe waliwo bye baamubuuza, era n’asaba Nakimuli okumulindako.
Wabula baakanda kulinda nga Luggya tafulumayo, era ne batuuka okuvaawo nga tebamulabyeko, n’okutuusa olwaleero teri yali abanyeze ku mayitire ge.
Emyaka 50 Kayingo gy’amaze e South Africa, Nakimuli agamba nti tebamukwatirangako ku kisaawe e Ntebe ate ng’abadde ajja mu Uganda nga bw’addayo.
Bo nga abooluganda mu kiseera kino basaba nti omuntu waabwe bw’aba n’omusango ng’ali mu mikono gya byakwerinda, babayambe bamulabeko.
Abooluganda ensonga zino baazitutte n’ewakulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Joel Ssenyonyi n’agamba nti agenda kugatta eddoboozi lye ku lya ffamire ng’ensonga eno agitwala mu palamenti ateeke ku gavumenti akazito ennyonnyole Luggya gyali.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yagambye nti Poliisi si y’erina Kayingo, era temanyi gyali. Ate ye amyuka omwogezi wa UPDF mu ggwanga, Maj. Bilal Katamba yagambye nti bo nga UPDF tebamanyi mayitire ga Dr. Kayingo.
Omwogezi wa NRM Emmanuel Dombo, yasabye ebitongole by’okwerinda bwe biba bye birina Kayingo bimutwale mu kkooti avunaanibwe, bw’aba alina omusango gwe yazza