DISITULIKITI y’e Wakiso eraze enguudo 16 n’obutale busatu ebigenda okukolebwa mu nteekateeka eya Wakiso Greater Kampala Metropolitan Area Urban Development Program (GKMA-UDP) okuyambako mu kukendeeza Jjaamu mu Kampala.
Enguudo zino kuliko; Bukasa - Sentema - Kakiri (12km), Kitemu - Kisozi( 4.5km), Naggalabi Spur (2km), Seguku - Nalumunye- Bandwe - Kinaawa - Kyengera (8.2km), Namulanda - Bweya- Kajjansi - Dambwe - Lutembwe Beach (17km), Kayunga - Kawanda - Kiteezi - Luteete - Namirembe Hillside (12 Km), Wattuba - Jokolera
(3.6km), Bubebbere- Busi, Wakiso Hqtrs – Lukwanga - Nabukalu (8.2), Kawuku - Bwerenga (10km), Namugonde - Bugiri (5.3km), Kitende-Kitovu-Nsangu (11.3km), Buloba - Nabukalu - Sentema (6.7km), Seguku - Kasenge -Budo (10km) ne Kitetika - Masooli (4.2km).
Mu nteekateeka eno, kuliko n’okuzimba obutale obw’omulembe 4 okuli: Wakiso Central Market, Kawuka Market, Bulaga Market ne Kyengera Market Bino byayogedde Ssentebe wa Wakiso LC5, Matia LwangaBwanika eyannyonnyodde nti ku nguudo ezo 15 ziriko kiromita nga 300, enguudo 2 baazitandika dda okuzikola wansi wa Pulogulaamu eya GKMA-UDP okuli: Kitemu-
Naggalabi, Bukasa - Sentema- Kakiri, ate enguudo 2: Nalumunye Bandwe ne Kayunga Kawanda essaawa yonna bazitandika.
Bino yabyogeredde mu nsisinkano gye yabaddemu n’abakung’aanya b’emikutu gya Vision Group okuli Bukedde, Newvision, Bukedde TV ne Bukedde FaMa gye yakyadde n’abakelembeze ba Wakiso okwabadde CAO Afred Malinga n’abaakakiiko akafuzi aba disitulikiti. Lwanga yagambye beetaaga obuwumbi 50 okukola ku nguudo eziri mu mbeera embi mu disitulikiti n’annyonnyola nti wetwogerera, ebitundu bisatu ku nguudo za disitulikiti y’e Wakiso ze zaakayiibwa koolansi. “Naye jkukira nti Wakiso, ekwatagana ne Kampala mwemuli omutima gy’ebyenfuna bya Uganda.
Eyisa ebimotoka ebizitowa, ebireeta ebyamaguzi, ekitegeeza nti twetaaga enguudo ez’omulembe,” Bwanika we yategeezezza.
Yasabye gavumenti ebawe enkizo nga gyeyawa Kampala, nga omutemwa gw’ensimbi gw’egiwa gwawukana ku disitulikiti endala. “Wakiso erimu abatuuze abaweza obukadde busatu n’ekitundu.
Kino kigireetera okuba ekibuga ekyokubiri mu bunene mu Uganda, bwe yagambye.” CAO Malinga, yasabye gavumenti okwongera ku mutemwa gweteeka mu by’obulamu mu disitulikiti, olw’okuba erina omujjuzo gw’abantu.Prossy Nakalembe, akwasaganya eby’amawulire mu Wakiso, eyategese olukung’aana luno, yategeezezza nti baakusomesa abantu mu Wakiso ku kukuuma obutonde bwensi n’okwewala okumansa kasasiro.