POLIISI ennyikizza ebikwekweto byayo mw’eyooledde abavubuka 150 n’okusoba abalonda obucupa ne sikulaapu, oluvannyuma lw’okukizuula nti abasinga beenyigira mu bumenyi bw’amateeka Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti poliisi yatandika ekikwekweto kye yatuuma ‘Fukuza kawenja’ okukwata abeenyigira mu bumenyi bw’amateeka oluvannyuma lw’okukizuula nti abamu ku beefuula abalonda obucupa n’ebyuma ebikadde be bamu ku babba abantu.
Ku Mmande, poliisi ya CPS yakoze ekikwekweto mwe yayooledde abagambibwa okusaasaanya ebiragalalagala, abateega abantu ne bababba n’abali mu bubinja obumenya amaduuka.
Yategeezezza nti abaakwatiddwa abamu baasangiddwa mu bbaala ne batwalibwa ku poliisi ya CPS okusobola okusunsulwamu.
Ebikwekweko byakoleddwa mu bitundu okuli; Kiwatule, Kamul Road, Wabiku zooni ku luguudo lwa Northern Bypass, Mukono, Kajjansi, Nansana n’awalala era abavubuka abasoba mu 150 be baayooleddwa.