NUP eyingidde olunaku olwokusatu ng’esunsula abeegwanyiza obwakkansala ku lukiiko lwa Loodi Mmeeya ne ku munisipaali za Kampala.
Eggulo, akakiiko k’ebyokulonda mu NUP kaasunsudde bakkansala okuva mu Lubaga South, Nakawa East ne Kawempe North. Umar Magala eyali yeegwanyiza eky’omubaka
wa Kawempe North, y’omu ku baasunsuddwa ku bwakkansala bw’ekitundu kye kimu.
Ebimu ku bifo ebiriko enkalu kye kya Lubaga South III ekiriko abantu 6 ne Kawempe II ekiriko 10. Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu NUP, Harriet Chemutai, yagambye
nti, enteekateeka eno ya bwereere era tewali gwe baggyako ssente.
Yalabudde abeesimbyewo obutakolagana na bafere nti, babawa ssente okufuna kaadi.
Abavuganya balwanira obubonero 100, nga kuno, 40 bwa bibuuzo ebibuuzibwa ku kitebe, ate obubonero 60 buve mu kunoonyereza mu bantu b’oyagala okukiikirira.
Olwaleero akakiiko ka kusunsula abanaaba bafisse mu Lubaga, Nakawa ne Kawempe. Enkya kuLwokuna bakwate ku Makindye West, Makindye East, ne Kampala Central.
Bakkansala mu Wakiso baakubatandikako okuva nga August 2-7, 2025, ate okuva nga August 8-13, 2025, akakiiko kagenda kwegabanyaamu, mu bitundu ebiri ebweru wa
Kampala, bayambeko abakulembeze ba NUP mu bitundu ebyo okusunsula abagenda okwesimbawo ku bwakkansala ne bassentebe ba ggombolola