EMISANGO egisoba mu 50 gye gyawuliddwa ku lunaku olwasoose ku kakiiko Pulezidenti Museveni ke yataddewo ku kwemulugunya kw'abaawangulwa mu kamyufu ka NRM.
NRM yataddewo balooya 29 okuwulira emisango egisoba mu 400 era eggulo beekozeemu 'kkooti' 9 nga buli kkooti ya balooya basatu ne bawulira emisango.
Egimu ku gyawuliddwa eggulo mwabaddemu abakyala 7 abaawangulwa ku ky'omubaka omukyala owa disitulikitti y'e Lyatonde abaapangisizza Munnamateeka Fred Mukasa Mbidde.
Mbidde yasabye akakiikokasale okwemulugunya kw'abantu be mu ngeri ey'obwenkanya nga kalangirira omuntu omutuufu oba si ekyo okulonda kaddibwemu. Mu bujulizi bwe baawaddeyo baalumirizza nti, abalonzi batiisibwatiisibwa n'emmundu era abasinga tebaalonda so ng’ate n'eyakuliramu okulonda mu kitundu kyabwe yeekobaana ne Katushabe n’amuwa obuwanguzi.
Omubaka omukyala owa distulikitti y'e Bugweri, Rachael Magoola ne Amina Mutesi
Nalugoda gwe yawaabira ng’alumiriza nti, obuwanguzi bwe tebwali bwa bwenkanya
nabo balabiseeko eri akakiiko.
Nalugoda yategeezezza nti, yeewuunyizza Magoola okuwakanya obuwanguzi bwe ate nga yamuwangulira waggulu. Magoola agambanti, bangi ku balonzi be tebaalonda wabula munne bwe baali ku mbiranye, abalonzi yasombanga basombe.
Eyawangula mu Kassanda South ku ky'omubaka, Hajji Abdul Bisaso yagasimbaganye n'akakiiko nga yaloopebwa Eria Mubiri ne Semeo Nsubuga. Anderson Burora eyawangula mu akawa West naye yalabiseeko oluvannyuma lw'okuwaabirwa Shukla Mukesh.
Burora yagambye nti, eby'okumuwaabira yabyekangidde mu mawulire kyokka mugumu nti, waakuwangula omusango. Akulira bannamateeka mu NRM, Enock Barata yagambye nti, olunaku olwasoose lwatambudde bulungi.