Akubye mukazi we akakumbi n’amutta naye bamusse

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Kasebuti mu ggombolola y’e Bukulula e Kalungu, omusajja bw’abase akakumbi n’akakuba mukyala we ku mutwe n’afi irawo ng’amulumiriza obwenzi.

Abagenzi nga bwebabadde bafaanana
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Kasebuti mu ggombolola y’e Bukulula e Kalungu, omusajja bw’abase akakumbi n’akakuba mukyala we ku mutwe n’afi irawo ng’amulumiriza obwenzi.

Kino kiggye abamu ku batuuze mu mbeera naye ne bamukuba emiggo egimusse n’omulambo ne bagwokya era poliisi w’etuukidde esanze bisiriiza.
Omwogezi wa poliisi mu Masaka East, Twaha Kasirye ategeezezza nti, omukyala eyattiddwa ye Resty Nakanwagi 40, ng’ate bba naye abatuuze gwe basse ye Simon Kakuru 53.
Abatuuze ku kyalo baategeezezza nti, Kakuru abadde amaze emyezi ebiri ng’adding’anye ne Nakanwagi gw’alinamu omwana oluvannyuma lw’okumala emyaka esatu nga baawukanye.
Kigambibwa nti, Kakuru ng’abadde akolera mu bitundu by’e Villa Maria yakomyeewo ku kyalo n’afuna olugambo nti, Nakanwagi abadde aliko omusajja omulala gw’apepeya naye.

Kakuru obusungu yabuggye mu bbaala gye yasookedde era olwatuuse awaka yatandikiddewo oluyombo ng’alumiriza Nakanwagi obwenzi, okukkakkana ng’amusse. Ssentebe w’ekyalo kino, Hasifah Namyalo yagambye nti, Nakanwagi eyattiddwa abadde muwala we.

Yategeezezza nti, okulaajana kw’omukyala ono kwe kwalabudde baliraanwa be, kyokka we baatuukidde okumutaasa baamusanze agudde mu kitaba ky’omusaayi ng’amaze okufa.

Baliraanwa be baakubye enduulu eyasombodde abatuuze abaasanze ng’omutemu akyali mu kisenge ne bamusikambulayo mu busungu ne bamukuba emiggo
egyamusse. Poliisi yazze n’etwala emirambo mu ggwanika e Masaka