Omuzikiti gw’e Kampalamukadde guzitooweredde omugagga abadde ateekateeka okugutunda anunule ssente ze yasasula okugula ettaka ly’e Ssembabule. Asonze ku mmaali endala gy’ayagala okutwala.
Eyaganzanga abawala nga bw’abatta omulamuzi amuwadde ekibonerezo kya kusibwa emyaka 105. Ateddeko n’ekiddirira singa afa ng’emyaka egyo teginnaggwaayo.
Palamenti eddizza Bobi Wine omuliro ku ssente obukadde 100 eza Ssekukkulu. Ne Kenzo abeegasseeko okumuvumirira obutayagaliza Bayimbi.
Mulimu akakonge akakuwa omukisa okwewangulira ebyassava mu Gabula Ssekukkulu wa Bukedde.
Omuzadde alina omuyizi mu P3, P4, P5 ne P6 bamuteereddemu Holiday Package okumuyamba okutandika ekibiina kye yagenzeemu nga mumanyi.
Mu Byemizannyo: Omutendesi wa ManU oluwanduse mu za Bulaaya ne yeekaza nga ttiimu ye bw’ekyali ey’amaanyi era essira kati bagenda kuliteeka ku Premier.
Gano n'amalala mu Bukedde w'Olwokuna agula 1,000/- zokka.