Omwana ow'emyaka omukaaga eyabadde awambiddwa ku mudumu gw'emmundu okuva e Naminya Njeru, poliisi emuzudde.
Kaira Nankya Mbuga, asangiddwa e Naminya wamu n'emmundu eyakozeseddwa, oluvannyuma lw'ebitongole okuli ekya flying squad, CI, ne CMI, okulinnya abali emabega w'ekikolwa kino, akagere.

Nankya ng'ali mu ddwaaliro afuna obujjanjabi
Omwana ono, yawambiddwa ku wiikendi, abazigu ab'emmundu abaabadde beekapise obukookoolo, bwe baalumbye amaka ga Dr. Moses Mbuga Ndiwalana 37 e Naminya cell, Kiira ward e Njeru mu Buikwe, ne babassa ku mudumu gw'emmundu ne babba ssente n'omwana ne bagenda naye.
Kitegeezeddwa nti, abaamuwambye, baatandise okukanda abazadde ssente okumubaddiza. Kigambibwa nti ennamba y'essimu 0790067203 egambibwa okuba ng'abazigu kwe babadde basabira ssente, eri mu mannya ga Daniel Oketch ng'ono yakwatibwako ne munne Denis Mutoni ku misango gy'obubbi n'ayimbulwa ku kakalu ka kkooti nga Nov 21, 2025.
Omwana, asangiddwa Naminya ku luguudo oluva e Kayunga okudda e Jinja era nga mu kiseera kino, ali mu kufuna bujanjabi ku ddwaaliro lya IMC e Jinja, ng'omuyiggo gugenda mu maaso.
Mu kifo kye kimu, era we waasangiddwa n'emmundu egambibwa okweyambisibwa mu bunyazi buno ng'erimu amasasi 2.