Amawulire

Aba DF bakyadde e Mmengo ne banjulira Katikkiro enteekateeka zaabwe

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Bannabyabufuzi mu kibiina kya DF  okwewala eby’obufuzi eby’empalana kubanga tebiyamba kuzimba ggwanga.

President wa Democratic Front Mathias Mpuuga ng'akwasa Katikkiro report
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Bannabyabufuzi mu kibiina kya DF  okwewala eby’obufuzi eby’empalana kubanga tebiyamba kuzimba ggwanga.

Mayiga yeebuuzizza lwaki omuntu awalana omuntu nga tali mu kibiina kyo n’awabula kyetaaga nti buli muntu asobola okubeera ky’ebyobufuzi eky’enjawulo, eggwanga nerigenda mu maaso.

Aba DF nga bali mu office ya Katikkiro

Aba DF nga bali mu office ya Katikkiro

Katikkiro Mayiga okwogera bwati yabadde ayogerera mu Bannakibiina kya Democratic Front abaakulembeddwamu Omukulembeze waabwe Mathias Mpuuga, abaakiise embuga okwanjulayo enteekateeka z’ebyobubufuzi zebalina mu 2026 eri Bannayuganda

“Tubasaba okwewala eby’obufuzi eby’okwevuma, okwerangira. Tetwagala ebyo byabufuzi nti kuyisaamu bantu ggaali, tebirina kyebitugasa. Twetwetaaga ekibiina kutubulire byemugenda okukola ebitugasa,” Katikkiro Mayiga bweyayogedde.

Mayiga yabuulidde abagenyi be bano ng’ebisongovu ebyogerebwa, abantu beboogereramu nga bwebategeera era abeeggyiramu eby’omugaso byebatwala.

Katikkiro Mayiga yalaze nti tewali buzibu na bantu okukyusa ebibiina okudda mu birala kubanga buli kadde ebibiina bitondebwawo era nti ensi esobola okubeeramu ebibiina bingi n’olwekyo tegusaanye kubeera musango.

Mpuuga n’abakulu abalala mu DF, batuukidde mu ofiisi ya Katikkiro eyabaanirizza era oluvanyuma ne bafunamu okwogerezeganya era bwekwawedde ne bagenda mu bimmuli bya Bulange, awaabadde okwogera okw’olujjudde.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera eri abagenyi ba DF

Katikkiro Mayiga ng'ayogera eri abagenyi ba DF

Mayiga yasabye aba DF okutandikirawo okulwanirira ensonga ssemasonga za Buganda ettaano era n’alaga nti Buganda bweterera ne Uganda eterera.

Mpuuga yakwasizza Katikkiro Mayiga ekiwandiiko kyabwe omuli ensonga ezo kwebayimiridde mu kiseera kino eky’okulonda.

Ekiwandiiko kino mulimu okukola ennongosereza mu mateeka agafuga eggwanga, okuteekateeka okujjulula obuyinza, okutabaganya eggwanga, okukendeeza ku bunene bwa Palementi kubanga eriwo kati erimu ababaka abasukka 500 kyokka ng’abateeka bali 50 nga wabeerawo enkiiko bbiri; Palamenti ennene y’abantu 250 n’entono y’ababaka 39 ng’eno y’enkulu n’ebirala.

“Akaseera kaatuuka era kaayitwako dda, lino eggwanga okuddamu okukubaganya ebirowoozo ku nkulembra yaalyo n’okugabana obuyinza mu nkola ya federo, ssi mu ngeri yakwebuzabuza. Nga DF tuli balambulukufu ku ngeri gyetusobola okugabanamu obuyinza.

Ku nsonga za Buganda, Mpuuga yawadde obweyamo ng’ekibiina kye bwekiri ekyeteefuteefu okuteeka ku mwanjo ensonga za Buganda.

“Twagala okusuubiza Obuganda nga DF, tumanyi bulungi era tukuba buddinda nnyo ebirubirirwa bya Buganda ebikulu era tetubisangako webikontanira n’ebigendererwa bya Bannayuganda abalala bonna era tujja kuzitambuliza wamu. Ensonga ssemasonga etaano eza Buganda tezirina wezikontanira n’ebiruma bannayuganda abalala.

Aba DF nga bali e Bulange e Mmengo ne Katikkiro

Aba DF nga bali e Bulange e Mmengo ne Katikkiro

Yamwanjulidde akabonero k’omuti n’agamba nti baagala mu maaso eyo okukulemberamu kaweefube w’okusimba emiti okutaasa obutonde bwensi.

Ku miggo mu kalulu akagenda mu maaso, Mayiga yakowoodde buli akwatibwako mu by’obufuzi, afube nnyo eggwanga libeere n’emirembe mu kalulu oluvanyuma lw’okutegeezebwa nti Munna DF, Winfred Nakandi avuganya ku kifo kya Nakawa East, Winfred Nakandi eyakubiddwa ejjinja ng’ava ewuwe, amasasi ne ttiyagaasi mu Kampeyini za Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu avuganya ku Bwapulezidenti bwa Uganda.

Omubaka w’ekibuga ky’e Ntebe yategeezezza nga nabo mu DF bwebatakiririza mu byabufuzi eby’okwevuma, okuyisaamu abantu eggali wabula batunulidde okutuusa obuwereeza eri abantu

Tags: