Amawulire

Abakristu bakubiriziddwa okwenyigira mu mirimu gya Klezia

Klezia Katolika mu Uganda ekuzizza emyaka 60 bukya Paapa Paulo VI afulumya kiwandiiko ekirungamya Obutume bw’Abakristu Obukristu. Ekiwandiiko kino eky’ava mu birowoozi by’Olukiiko lwa Vaticano II, ekyiyitibwa Apostolicam Actuostatem, Paapa Paulo y’akifulumya nga November 18, 1965.

Abakristu bakubiriziddwa okwenyigira mu mirimu gya Klezia
By: Mazinga Mathias , Journalists @New Vision

Klezia Katolika mu Uganda ekuzizza emyaka 60 bukya Paapa Paulo VI afulumya kiwandiiko ekirungamya Obutume bw’Abakristu Obukristu. Ekiwandiiko kino eky’ava mu birowoozi by’Olukiiko lwa Vaticano II, ekyiyitibwa Apostolicam Actuostatem, Paapa Paulo y’akifulumya nga November 18, 1965.

okusomesa

okusomesa

Ng’ekiwandiiko kino tekinnafulumizibwa, abantu bangi baali bafunye endowooza enkyamu, egamba nti Abasaserdooti beebakamala byonna, abateekeddwa okusalawo n’okukola buli kimu, olwo Abakristu Obukristu nebasigala kutunula butunuzi, kuwuliriza n’akukola ekiba kibagambiddwa. Yannyonnyodde nti Omukristu yenna alina obuvunaanyizibwa okuzimba Obwakabaka bwa Katonda, era nga kiba kikyamu obuvunaanyizibwa buno okubulekera Abasaserdooti ne Bannaddiini,

Kyokka Abepiskoopi b’ensi yonna, abaatuula mu Lukiiko lwa Vatican Council II, bakkaatiriza nti Klezia kibiina kya Bakkiriza bonna, era omulimo gw’okuzimba Obwakabaka bwa Katonda gwabuli Mukrstu, sso ssi Basaserdooti oba Bannaddiin bokka.

Nga Klezia ekuza emyaka 50 bukya Paapa afulumya ekiwandiiko ekirungamya ensonga eno, Abepiskoopi ba Uganda baategese omusomo ogw’enjawulo, okusobozesa Abakristu okwejjukanya n’okwefumiitiriza ku Butume bwabwe mu Klezia.

Ssaabasumba Ssemogerere ng'ali ne bannaddiini abalala

Ssaabasumba Ssemogerere ng'ali ne bannaddiini abalala

Omusomo guno gwabadde mu Ulrika Guest House e Kawuku. Gwetabiddwamu abakulembeze b’Abakristu, n’Abasaserdooti abakwanaganya emirimo gya Klezia mu masaza ga Klezia Katolika ag’omu Uganda gonna.

Bweyabadde aggulawo olukungaana luno, Ssabasumba w’Essaza Ekkulu ery’e Kampala, Paulo Ssemogerere y’agambye nti kisaanye era n’okuteekwa kiteekwa Abakristu okwenyigira mu buweereza n’enzirukanya y’emirimo gya Klezia. Y’asabye abakulembeze b’Abakristu okufaayo okuyiga n’okuyigiriza abantu obubaka obuli mukiwandiiko kino, bweyagambye nti butumbula enkola eya Klezia etambulira awamu.

Bweyabadde aggalawp olukungaana luno, Ssabasumba Augustine Kasujja, Omubabaka wa Paapa, naye y’alaze obukulu bw’Abakristu Obukristu, Bannaddiini, n’Abasaserdooti okukolera awamu.

Y’awadde eky’okulabirako ky’Abajulizi ba Uganda, Yozefu Mukasa Balikuddembe ne Anderea Kaggwa, beyagambye nti baasobola okukuuma Eddiini Katolika, era nebagyitwala mu maaso, Abaminsane ababereberye bwebaali baddukidde e Tanzania, okuva mu 1882 okutuuka mu 1885.

 

Omusomo guno gw’aweereddwa abakulembeze  b’Abakristu, n’abakugu ab’enjawulo, okwabadde Ssabakristu wa Uganda, Omukulu Gervase Ndyanabo, omumyuka we Anthony Mateega, Fr. Dr. Ambrose Bwangatto, Ssabakristu w’essaza ekkulu ery’e Kampala Emily Kitto Mwaka, Ssabawandiisi w’Olukiiko lw’Abepiskoopi ba Uganda Msgr. John Baptist Kauta, Fr..Fred Tusingire, n’abalala bangi

Tags: