Robert Kyagulanyi Ssentamu asimbudde okuva e Nakasongola we yasuze okwolekera disitulikiti y’e Dokollo ne Amolator.

Kyagulanyi bw'abadde yaakasimbula e Nakasongola
Kyagulanyi akulembeddwamu omumyuka we mu Northern Uganda, Dr.Lina Zedriga ne munnamawulire Ivan Kyeyune akwatidde Nup bendera ku kifo ky'omubaka w’e Nakasongola.
Okufaananako ne bwe gwabadde eggulo ne leero, Kyagulanyi ayambadde ekikoofiira ku mutwe n’akajakeeti akatangira amasasi okumuyitamu.

Ivan Kyeyune akutte bendera ya NUP ku kifo ky'omubaka owa Nakasongola ng'aliko by'annyonnyola.