Amawulire

Museveni agumizza ab'e Ankole ku bitannakolebwako

Pulezidenti Museveni akyagenda mu maaso n'okunoonya akalulu akamuzza mu ntebe y'Obwapulezidenti mu kulonda kwa bonna era nga akyali mu bitundu bya Ankole.

Museveni agumizza ab'e Ankole ku bitannakolebwako
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Pulezidenti Museveni akyagenda mu maaso n'okunoonya akalulu akamuzza mu ntebe y'Obwapulezidenti mu kulonda kwa bonna era nga akyali mu bitundu bya Ankole.

Museveni ku Lwokubiri yasiibye mu distulikiti y'e Bushenyi ne Sheema era ng'eno yawerekeddwako mukyala we  Janet Museveni.

E Bushenyi olukungaana yalukubye ku kisaawe kya Kizinda era abakulembeze kwossa n'abasuubuzi abazaalibwa mu Bushenyi baamwaniriza mu ssanyu ne bamukakasa nti mu Bushenyi NRM tevuganyizibwa.

Ssentebe wa NRM owa disitulikiti ya Bushenyi, Alhajji Hassan Basajjabalaba yategeezezza nti ebisinga Museveni abikoze nga kati baagala bongere okutereezaamu ku by'obulamu.

Maama Janet Museveni yeebazizza ab'e Bushenyi olw'okwekulaakulanya ne bazimba amaka amalungi, okwo kwossa n'okulunda akabonero akalaga nti si ba ngalobunani.

Bw'atyo yabakunze nga 15 January 2026 bagende mu bungi mu bifo ewalondebwa bawe Gen. Museveni akalulu .

Museveni mu kwogera yabuulidde abalonzi e Bushenyi nti kyabwenkanya okwongera okumulonda olwensonga nti ekibiina ky'akulembera ekya NRM emyaka 40 gye kimaze mu buyinza kisobodde okukuuma obutebenkevu n'okuwa bannansi emirembe.

Yalambulude nti obutebenkevu tebuliimu kuzannyisa yadde okugezesa n'awa eky'okulabirako eky'eggwanga lya Sudan nti yabalabula ku bulabe obuli mu kutambuliza  eby'obufuzi ku ddiini n'amawanga ne batawuliriza okutuusa embeera bwe yabava mu ngalo.

Gen. Museveni yagenze mu maaso n'okubanjulira  by'asobode okukola mu kisanja kino mu disitulikiti y'e Bushenyi okuli okuzimba oluguudo oluva e Mbarara okutuuka e Bushenyi ne luyitamu paka Kasese nga kati ebyensuubulagana bitambula kinnawadda .

Yasuubizza nti n'oluguudo oluva e Kitabi - Kitagata okutuuka e Rwamabondo lwakukolebwako .

Pulezidenti Museveni yabagumizza nti ebitannakolebwa byakukolebwako olw'ensonga nti  gavumenti  tesobola kukola ku nsonga zonna omulundi gumu.

Ku nsonga y'amasannyalaze Museveni yategezezza nti gavaavaako naye waakwongera okwekenenya wa ekizibu we kiva so nga go amasomero azimbye agawera.

Mu ssanyu abawagizi be baamukwasiza ebirabo ebimukakasa nti bali naye era tebayinza kumuvaamu.

Oluvannyuma Museveni yakwasiza abakulembeze b'ekibiina abaayitamu mu kamyufu mu kitundu kino bbendera n'abasabira akalulu .

Tags:
Museveni
Ankole
Bushenyi
Sheema