Amawulire

Omuyizi afumise munne ekiso n'amutta lwa muwala abadde abacanga!

POLIISI e Mityana, ekutte omuyizi w'essomero agambibwa okufumita muyizi munne ekiso ekyamusse nga balwanira omuwala .

Omuyizi afumise munne ekiso n'amutta lwa muwala abadde abacanga!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

POLIISI e Mityana, ekutte omuyizi w'essomero agambibwa okufumita muyizi munne ekiso ekyamusse nga balwanira omuwala .

 

Akwatiddwa ye Edward Matovu omuyizi ku ssomero lya St. Francis S.S e Busunju kyokka ng'abadde apangisa akazigo mu Kibubula A cell west ward mu  Busunju town council e Mityana. 

 

Eyattiddwa ye Rajab Mulindwa 19 ng'abadde muyizi mu Naggulu Seed Secondary School e Namayumba.

 

Kigambibwa nti omuwala ndibassa, Hadijah Nabutanda,  omuyizi mu  Naggulu Seed SS , naye yafunye ebisago era ensonga ne ziiroopebwa ku poliisi e Busunju.

 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, ategeezezza nti , Nabutanda, yasoose kukyalira Matovu mu kazigo k'apangisa, nti kyokka bwe yamusiibudde, Matovu kwe kumulinnya akagere n'amukwatira ewa Mulindwa.

 

Ayongeddeko nti kino, kyaddiridde okulwanagana ku Lwokuna, nga kigambibwa nti Matovu kwe kufumita Mulindwa ekiso ekyamusse n'omuwala n'afuna ebisago , olwo ye , Matovu n'adduka , okutuusa lwe bamukutte .

 

Kigozi, asaasidde bazadde b'omugenzi era n'asaba abayizi okwewala ensonga z'omukwano.

Tags:
Amawulire
Muyizi
Kiso
Kutta