Ekyagaanyi Bwanika ne Kazibwe okugenda mu lukiiko lwa Bobi Wine

ABABAKA Abed Bwanika ne Bashir Kazibwe obutalinnya mu lukuhhaana lwa Bobi Wine lwe yayise olw’ababaka ba Palamenti bonna kyongedde okulaga entaloeziri mu NUP naddala mu bakulembeze.Olukuhhaana lwa Bobi lwabadde ku kitebe kya NUP ekipya nga yaluyise mu kiseerang’obunkenke bweyongedde mu kibiina okuva ababaka Muhammad Ssegiriinya ne Allan Ssewannyana lwe baayimbuddwa okuva mu kkomera e Kigo gye bamazeomwaka mulamba n’emyezi 8.

Kyagulanyi ng’abuuza ku Nyanzi bwe yabadde yaakatuuka ku kitebe kya NUP e Makerere - Kavule. Owookubiri ku kkono ye Mpuuga ne Ssennyonyi (ku kkono).
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABABAKA Abed Bwanika ne Bashir Kazibwe obutalinnya mu lukuhhaana lwa Bobi Wine lwe yayise olw’ababaka ba Palamenti bonna kyongedde okulaga entalo
eziri mu NUP naddala mu bakulembeze.
Olukuhhaana lwa Bobi lwabadde ku kitebe kya NUP ekipya nga yaluyise mu kiseera
ng’obunkenke bweyongedde mu kibiina okuva ababaka Muhammad Ssegiriinya ne Allan Ssewannyana lwe baayimbuddwa okuva mu kkomera e Kigo gye bamaze
omwaka mulamba n’emyezi 8.
Kigambibwa nti Ssegirinya ne Ssewanyana okuyimbulwa waabadde ddiiru kyokka abamu ku babaka ba NUP ekyo bakiwanya ate ng’abalala omuli ne Abed Bwanika balumiriza nti, ddiiru yabaddewo era kino kyamutabudde ne babaka banne naddala
Betty Nambooze ne bavaawo bubi nnyo, Abed n’aggyayo ebyama bya Nambooze ku ngeri Gavumenti gy’ebadde emuyamba ku bya ssente nga bamujjanjaba.
Abed Bwanika ne Kazibwe bombi tebaabaddeyo mu lukiiko lwa Bobi gattako n’ababaka abalala okuli; Ssegirinya, Sewanyana ne Shamin Malende akyali mu ddwaaliro lya Aga Khan e Nairobi.
Ensonda mu NUP zaategeezezza nti, Abed Bwanika ne Bashir Kazibwe baaliddee okulinnya ku kitebe kya NUP olw’okutya abawagizi okubakolako effujjo ate ababaka Ssegirinya, Ssewanyana bagamba nti, bakyali balwadde kyokka ensonda zaategeezezza
Bukedde nti, mu ddiiru kwe baayimbulirwa okuva mu kkomera, tebakkirizibwa kugenda
ku NUP oba e Magere okusisinkana Bobi Wine.
Wabula omwogezi wa NUP Joel Ssenyonyi yannyonnyodde ku mukolo nti abamu ku babaka abataalabiseeko baabadde balina obuvunaanyizibwa obulala bwe baliko era tekyabadde kya tteeka nti, buli omu ateekwa okusuulawo obuvunaanyizibwa obulala
bw’akola abeerewo mu lukuh− haana.
Abawagizi baatadde embeera ku akulira oludda oluvuganya Mathias Mpuuga bwe yabadde ayogera ababuulire wa ababaka gye bali. Yategeezezza nti babalindeko
bagenda kuvaayo gye bali beeyogerere.
Embeera bwe yatuuse wano, Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) n’akwata omuzindaalo n’alabula nti omulabe waabwe yasensera dda NUP era waliwo abamu ku bakulembeze abakozesebwa okunafuya ‘struggle’.
Bano yaboogeddeko ng’emmese ensolima ezigenderera okusuula ekibiina nga zisinziira munda.
Yakiggumizza nti enkola yaabwe tebakkiririza mu kuteesa na bakungu ba Gavumenti ku kuyimbula abantu abazze bakwatibwa era bwe wabeerawo abateesa ye takimanyi era bakikola ku lwabwe ate mu bukyamu.
Bammemba baakubye engalo Kyagulanyi bwe yakiggumizza nti we wabeerawo abateesa ne Gavumenti ku kuyimbula abasibe ne bagisuubiza ebintu ebyenjawulo nti bagenda kugiyamba, ekyo baagifera.
Nti enteseganya zonna ezikwaata ku ddembe ly’obuntu n’okunyigiriza aba NUP nga
ekibiina tebazigendamu.
Kyokka omubaka Abed Bwanika ataabaddewo yategeezezza nti ye ebibye yabyogera dda era tabikyusaamu ku kuteesa . Bwanika azze akyogera lunye nti abakwate
basaana kuyamba nga NUP eyita mu makubo gonna agasoboka naddala okuteesa babayimbule era nti waabaddewo n’okuteesa ku kuyimbula ababaka ba palamenti.
Omubaka wa DP eyabaddewo mu lukiiko luno Lutamaguzi Ssemakula ye yasoose okulumba abaagala okuteesa ne Gavumenti n’ategeeza nti omuntu yenna asaba enteeseganya ku ddembe ly’obuntu bakimanye nti oyo aba mubaka wa oyo anyigiriza era tebakiriza nteeseganya yonna.
Fred Nyanzi ssaabakunzi wa NUP, yategeezezza nti ababaka bonna Pulezidenti ye yabayise okubeerawo