Kansala we Butabika akubirizza abantu okudda eri Katonda

KANSALA wa L.C III e Butabika, Fred Obbo  asabye abantu okudda eri Katonda naddala nga bafunye okusomoozebwa mu mbeera ezitali zimu kubanga Katonda alagira kubeera baguminkiriza mu buli mbeera yonna ebeera esomooza.

Kansala we Butabika akubirizza abantu okudda eri Katonda
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

KANSALA wa L.C III e Butabika, Fred Obbo  asabye abantu okudda eri Katonda naddala nga bafunye okusomoozebwa mu mbeera ezitali zimu kubanga Katonda alagira kubeera baguminkiriza mu buli mbeera yonna ebeera esomooza.

Obbo akuutidde abantu obutaggwamu ssuubi naddala mu biseera nga bino nga abantu balabika nga baweddemu essuubi olw’embeera y’obwavu eyitiridde mu bantu olw’emirimu okuzinngama.

Awadde eky’okulabirako eky’eyali omuvuzi wa boda boda Ssalongo Ronald Atwijuka 34, eyetuga n’aleka nga awandiise ekiwandiiko ekiraga nga ebizibu bwebimuyinze n’ategeeza nga ekikolwa ekyo bwekyali ekikyamu kubanga kiraga nti omuntu aweddemu essuubi.

Obbo ategeezezza nga abantu bwebalina okunyiikira okukola kubanga singa omuntu abeera akola kitera okuyambako ku kugonjoola ebizibu ebimu.

Asabye abantu bulijjo okunyumizangako ku bantu ababetolodde ku bizibu byebabeera basanze kiyambeko okugonjoola ebizibu ebitali bimu.